Amawulire

Abayizi bakalatiddwa okuteeka munkola bye basoma

Abayizi bakalatiddwa okuteeka munkola bye basoma

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Kyansala wa Kyambogo University Prof John Ssebuwufu, asabye abayizi abamaliriza emisomo gyabwe okufuula obuyigirize bwabwe obwomugaso eri eggwanga na bantu mu bitundu gye babeera.

Bwabadde ku lunaku olusembayo olw’amatikira ga bayizi ku ttendekero e Kyambogo, Ssebuwufu akuutidde abayizi obutakozesa masimu gabwe kugenda ku mikutu egyomutimbagano kyokka wabula okuzeyambisa okuvumbula nokuyiga bye batamanyi.

Abasabye baleme ku matira ne digiri emu gye bafunye wabula bulijjo banonyenga okumanya

Mungeri yemu omumyukawe prof Eli Katunguka akubiriza abatikiddwa obutamala galagajalira bulamu bwabwe ate baweereze bulungi ensi yabwe.

Abayizi abasoba 9,500 bebatikidwa ku ttendekero Kyambogo okuvira ddala ku lwokubiri lwa ssabiiti eno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *