Amawulire

Abayizi babiri bawambiddwa e Kanungu

Abayizi babiri bawambiddwa e Kanungu

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti ye kanungu etandise okunonyereza kungeri abayizi babiri ab’esomero lya Ntugamo primary school mu town council y’e butogota gye bawambidwamu.

Kigambibwa nti abayizi bano okuli Akim Niwagaba ow’emyaka 13 ne Ramathan Ayinamani ow’emyaka 10 babadde ne maama waabwe Joslyn Ampeire nga bagoba binyonyi mu nnimiro yomukyere we babawambidde.

Ampeire agamba nti yalabye bamukwata mmundu ababuzewo na baanabe ne besoga eggwanga erya democratic republic of congo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e kigezi Elly Maate akakasiza amawulire gano era nategeeza nti batandise okunonyereza kwabwe.