Amawulire

Abayizi ba s6 baayitidde waggulu

Abayizi ba s6 baayitidde waggulu

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abayizi abatuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo ebya S6 ebyomwaka 2020, omwaka oguwedde bakoze bulungi nyo bwogerageranya ku banabwe abatuula omwaka ogwa 2019.

Abayizi abóbuwala bakoze bulungi okusinga ku bannabwe abóbulenzi yadde nga abakola ebibuuzo baali batono ku balenzi.

Ssabawandiisi w’ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu gwanga ekya UNEB, Daniel Odongo, agambye nti omugatte abayizi emitwalo 9 mu 8,392 bebeewandiisa wabula emitwalo 9 mu 7,084 bebatuula ebigezo, ng’abayizi emitwalo 4 mu 1,190 bawala atenga emitwalo 4 mu 3,625 balenzi.

Abayizi emitwalo 4 mu 1,411 bafunye principle pass 3 songa abatuula mu 2019 abayizi emitwalo 3 mu 8,737 bebafuna principal pass 3.

Abayizi emitwalo 2 mu 6,602 bayise ne principle pass 2, abayizi omutwalo 1 mu 9,015 ne bafuna principle pass 1 atenga abayizi 9,616 bayise ne subsidiary 1.

Abayizi 796 baagudde nenkoona nenywa, nga waliwo enjawulo, bwogerageranya ku bayizi 1,433 abaagwa mu mwaka gwa 2019.

Odongo agambye nti abayizi 99.2% baayise era baakweyongerayo n’emisomo gyabwe mu matendekero aga waggulu wabula ku bano ebitundu 69% bebafunye obubonero obubatuusa mu university.