Amawulire

Abayizi abasoba mu 28000 tebasobodde kufuna bifo mu Yunivasite

Abayizi abasoba mu 28000 tebasobodde kufuna bifo mu Yunivasite

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abayizi abasoba mu mitwalo 2 mu 8,000 abaatula ebigezo bya siniya eyomukaaga omwaka oguwedde tebagenda kusobola kwegatta ku muttendera gwa yunivasite oluvannyuma lw’okulemererwa okufuna principal pass bbiri.

Okusinziira ku byetaago bya Yunivasite, omuyizi alina okuba ne principle pass 2 okugiyingira natwala amasomo agenjawulo.

Wabula okusinziira ku bivudde mu bigezo ebifulumiziddwa ekitongole kya Uganda National Examination Board, abayizi emitwalo 6 mu 7815 bokka ku mitwalo  9 mu 5787 abaafunye ebisaanyizo by’okuweebwa satifikeeti ya UACE be balina ebisaanyizo okwegatta ku by’enjigiriza ku mutendera gwa yunivasite.

Kino kitegeeza nti omugatte gw’abayizi 28,742 abatuula ebigezo bya UACE tebalina bisaanyizo kwegatta ku by’enjigiriza bya yunivasite

Bano baweereddwa amagezi okwegatta ku matendekero amalala oba agebyemikono oba okudamu siniya 5 okusobola okufuna pasi ebiri ezetaagibwa.