Amawulire

Abayizi abasinga tebasoma

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

child reading

Okukozesa abaana abato kyekimu ku bikyabalemesezza okusoma naddala mu bitundu by’ekyaalo

Okusinziira ku alipoota eyakolebwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abakozi mu nsi yonna, abaana obukadde bubiri abalina okubeera mu masomero basiiba ku mirimu egitali gimu omuli okuvuba, okulunda n’okulima

Kati ababaka ba palamenti nga bakulembeddwaamu Muwanga Kivumbi ne Sylvia Namabidde bagamba nti obwavu bwebusinze okuvaako kino ne basaba nti ekya mangu kikolebwe

Bano bagamba nti ekyennaku nti yadde okusoma kati kwa bwereere ku pulayimale ne siniya, abaana basiiba waka ate abalala basiiba batayaaya okwo kw’ossa n’okukola emirimu egitali gimu.