Amawulire

Abayizi abalala batikkidwa, Nalulungi yoomu ku bo

Ali Mivule

January 22nd, 2015

No comments

Miss Uganda 2

Senkulu w’ettendekero ekkulu erye Makerere  Prof Mondo Kagonyera obuli bw’enguzi obukudde ejjembe mu ggwanga abutadde ku butaba na mpisa.

Nga ayogera ku matikkira g’omulundi ogwe 65,  Prof Kagonyera ategezezza nga olutalo okulwanyisa amayisa amabi bwelulekeddwa eri gavumenti sso nga abazadde basaana okubuulirira abaana baabwe ku kabi akali mu kulya enguzi ssi kwemalira ku byakusoma byokka.

Ono era asesezza abetabye ku mukolo guno bw’abalagidde okusirika nga ayogera okussa ekitiibwa mu lunaku luno.

Mungeri yeemu amyuka Kyansala w’ettendekero lino  Edward Ddumba asabye enkolagana enungi okweyongera wakati w’ettendekero ekkulu erye Makerere n’aba MUBS e Nakawa.

Abayizi ba MUBS batikiddwa zi Degree, zi dipulooma ne PHDS mu masomo ag’enjawulo nga era Nalulungi wa Uganda Leah Kalanguka y’omu ku batikiddwa.