Amawulire

Abayizi abakwatibwa UMA ekola kukyókuyimbulwa kwabwe

Abayizi abakwatibwa UMA ekola kukyókuyimbulwa kwabwe

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ekibiina omwegatira abasawo mu ggwanga ki Uganda Medical Association kitegezeza nga bwekiri mu kukola kukyokununula abayizi abasawo ababadde mu kugezesebwa abaakwatibwa enkya ya leero mu kwekalakaasa.

Bano baakwatibwa bwebadde bategese okukumba okugenda ku palamaneti nga bagala pulezidenti Museveni abayambe oluvanyuma lwokumala okusoma ne batafuna mirimu songa nensimbi z’obusiimo bwabwe mu malwaliro gyebabadde bagezesereza bye basoma baabusala.

Abayizi bano abasoba mu 20 baakwatibwa enkya ya leero era mu kiseera kino bakyakuumibwa ku central police station mu kampala.

Okusinzira ku sssaabawandiisi wa UMA Dr Herbet Luswaata balagidde tiimu ya bannamateeka baabwe okukola kukyokuyimbula abayizi bano