Amawulire
Abayisiraamu basabidde Kabaka obulamu obulungi
Bya Prossy Kisakye,
Abaddu ba Allah abayisiramu okwetolola Uganda basabidde ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okutuuka ku mazalibwage ag’emyaka 66 ag’okukuzibwa nga 13 omwezi guno mu Lubiri e Mengo.
Emikolo emikulu egy’okusabira Omutanda gibadde ku kasozi Kibuli era abasiyiramu e Kibuli bazze mubungi okusaala e Jjummah n’okusabira Omutanda.
Obubaka bwa Katikkiro busomeddwa omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko Owek Ahmed Lwasa, mwasabidde abayisiramu okuwagira enteekateeka za kabaka ez’okulwanisa obulwadde bwa Mukenenya.
Sheikh Muhammood Kibaate omumyuka wa supreme mufuti bwabadde akulembeddemu okusabira Omutanda, awanjagidde Allah okwongera okukuuma Kabaka n’okulungamya enteekateeka ze zonna eri obwakabaka.