Amawulire

abayisiraamu bagumbye ku kkooti

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Muslim clerics in court

Waliwo ekibinja ky’abayisiraamu abagumbye wabweru wa kkooti ye kololo ewavunanibwa banaabwe abaakwatibwa olw’abakulembeze b’abayisiraamu abazze batibwa.

Kino kiddiridde abasiraamu nga bakulembeddwamu  Sheikh Yunus Kamoga okusaba kkooti ebalage sitetimenti ku misango egibavunanibwa ssaako n’obutambi bw’obujulizi ku misango gino.

Nga bayita mu munnamateeka waabwe  Fred Muwema,abasiraamu bano bagamba nti obujulizi obwabatwaza mu kkooti enkulu tebulaga ngeri gyebazzamu emisango egibavunanibwa.

Wabula munnamateeka wa gavumenti  Racheal Bikhole aganye okusaba kw’abavunaanwa bano nti bijja kuyingirira okunonyereza ku musango guno.

Agamba okusaba kuno tekuyinza kutunulwamu nga tebanatandika na kuwulira musango guno nga era abavunaanwa banditataganya abajulizi.

Omusango guli mu maaso g’omulamuzi Ezekiel Muhanguzi.