Amawulire

Abayisiraamu abalala bakuttibwa- omulangira Nakibinge yoomu ku bbo

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Waliwo olukalala oluggya olufulumiziddwa nga lulaga amannya g’abayisiraamu abalindiridde okuttibwa akadde kano

Olukalala luno lwanjuddwa minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga mu gavumenti erinze obuyinza Mohammed Muwanga Kivumbi.

Ku bali ku lukalala luno kwekuli Jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge, Sheikh Obedi Kamulegeya, Haruna Jjemba, Sheikh Mohmood Kibaate ne Loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago.

Kivumbi asabye gavumenti erina okuvaayo n’ekiwandiiko ekinyonyola ku biriwo kati n’okuzuula ani atta abayisiraamu.

Yye omubaka wa Kawempe mu bukiikakkono Latif Sebaggala agambye nti ate gavumenti tesaanye kutunuulira lukalala lwokka kubanga waliwo n’abalala abayinza okubeera mu bulabe kyokka nga tebali ku lukalala.

Asabye ssenkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura okulangirira nti ebintu bimulemye adde ku mabbali kubanga alemereddwa okukuuma abantu n’ebyaabwe

Kyokka yye nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa akakasizza palamenti nti mu ssabbiiti ssatu, bakuvaayo n’ekiwandiiko mu butongole ku kufa kw aba maseeka okusukkiridde

Yye

Embeera yo musajja eyakubidwa essasi mu butemu obwafiriddemu ne Sheik Hassan Kirya yetaaga kusabira oluvanyuma lw’abasawo okutegeeza nti talina kupapirwa kulongoosebwa olw’ensonga nti essasi balikubye wabi nyo.

Daniel Okim ow’emyaka 26 mutuuze we Bweyogerere Kakajjo zone ng’akola mu bajjiro yakubiddwa essasi mu kibegabeega okumpi n’omutima ekirowozebwa nti lyayise mu musuwa.

Twogeddeko ne muganda we Peter Ebitu n’ayongera okusaba gavumenti okubakwatirako okusobola okufuna obujjanjabi.

Bano bagamba bajja mu kampala kweyiya nga n’enfuna yaabwe ntono nyo.