Amawulire

Abayekera ba M23 bogedde

Abayekera ba M23 bogedde

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2022

No comments

Bya Robert Muhereza

Abayekera ba M23 abali mu kulwanagana námaggye ga gavt ya DRC bavudeyo ne bategeeza nti bakwanukula ku byasaliddwawo abakulembeze ba mawanga agali mu mukago gwa East African Community ebyatukiddwako olunaku lweggulo.

Kino kidiridde abakulembeze okusisinkana mu kibuga Nairobi e Kenya akawungeezi akayise okukubaganya ebirowooza ku butya bwe bayinza okuyamba okutebenkeza DRC, okulagira emmundu zisirikiriremu nókwamuka ebifo ebyawambidwa abayekera.

Bano bateegezeza nti kino kyakuyamba abantu abali mu bitundu ebirimu obutabanguko okuwulira nti balina obukuumi era basobola okudamu okukakalabya emirimu gyabwe.

Wabula omwogezi wa bayekera ba M23, Maj Willy Ngoma, agambye nti banatera okwevumba akavubo bateese ku bigambo bya bakulu balabe oba banabikolerako oba nedda.