Amawulire

Abawangaliira mu bwavu beyongedde mu Uganda

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Samule Ssebuliba

Ettundu tundu eryabantu abawangaliira mu bwavu obusukiridde beyongedde nebatuuka ku 21.4% mu mwaka gwa 2016/17 okuva ku 19% nga bwegwali mu 2012/13.

Wabula yyo mummabuka ge gwanga obwavu mu banan-Uganda bukendedde okuva ku 43.7% okudda ku 32.5%.

Bwabadde afulumya alipoota gyebakungaanya mu mwaka 2016/17, ssenkulu wekitongole kyebibalo mu gwanga ekya Uganda Bureau of Statistics Paul Mungyereza agambye nti kyeralikiriza kubanga bann-Uganda obukadde 8 ku bukadde 37 nomusobyo bebali mu bwavu, mponga byoya.

Okweyongera kwobwavu bano bakitadde ku kyeya ekyayokya egwanga, abantu nebabulwa keyokulya nobutabaako kyebatunda.

Ebitundu ebisingamu obwavu kuliko Bukedi ne Busoga.