Amawulire

Abawakanya etteka kunkozesa ya Kompyuta baddukidde mu Kkooti

Abawakanya etteka kunkozesa ya Kompyuta baddukidde mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ekibinja ky’abantu 12 okuli bannamateeka, bannamawulire n’abalwanirizi b’eddembe baddukidde mu kkooti etaputa Ssemateeka okusazaamu etteeka erifuga enkozesa embi eyakompyuta nga bagamba nti liyingirira eddembe lya bannansi n’eddembe ely’okwogera, n’okukola obusuubuuzi.

Ekibinja kino kikulembeddwa omukutu gw’a amawulire ogukakalabiza emirimu okuyita ku yintaneeti ogwa Alternative Digitalk limited.

etteeka likitwala nti omusango okufuna n’okugabana amawulire nga tofunye lukusa era ekibonerezo kibeera kyakusibwa emyaka egitakka wansi wa myaka 5.

Oludda oluwaabi lwewunya okulaba Palamenti ngayayisa etteeka lino nga tekoze kwebuuza ku bantu nokulaba engeri gyeligenda okubanyigirizamu

Kati bagala obuwayiro mu tteeka lino obugenderera okulinyirira eddembe lyobuntu busazibwemu.