Amawulire
Abawakanya ekya ababaka okufuulibwa ba minisita basabiddwa okuwaayo empaaba yaabwe
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ya ssemateeka ewadde abatwala omusango mu kkooti nga bagala pulezidenti museveni akomye okulonda ba minisita be mu babaka ba palamenti ennaku zomwezi nga 4th march okuba nga bawadeyo obujjulizi bwabwe obuwagira omusango gwabwe
Bano nga kuliko Isaac Wadada ne Hakim Nsimbe batwala ssabawolereza wa gavt mu mbuga nga bagamba nti ekyokkulonda baminisita okuva mu babaka ba palamenti kimenya ssemateeka enyingo eye 113 egaana ababaka ba palamenti okubaako yafeesi endala evaamu ensimbi gye benyigiramu ekiyinza okubavirako okufuna kyekubiira mu nkola ye mirimu gyabwe.
Banob bagala akakiiko ka balamuzi 5 nga bakulembedwamu Richard Buteera balangirire nti ekikolwa ekyokulonda ababaka ba palamenti kubwa minisita kimenya mateeka