Amawulire

Abawaabi ba gavumenti bakussa wansi ebikola

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

Chibita

Abawaabi ba gavumenti bagiwadde ennaku 30 okukola ku mbeera mwebakolera gyebagamba nti mbi oba ssi kkyo bakussa wansi ebikola

Bannamateeka bano era bataddewo nsalessale wa nnaku 14 okubakkiriza okulaba mukama waabwe ssabawaabi okulaba nti bakola ku nsonga ezibaluma

Mu bimu ku byebemulugunyaako, gwemusaala ogutawera, emisolo egibagibwaako n’abamu okubeera nga bafuna nyini ate abalala ntono

Akulira bannamteeka bano David Baxter Bakibinga mu ngeri yeemu era agamba nti bakola emirimu okusukka mu ssaawa ezoogerwaako  ate nga n’obusente tebuwera

Tebagaala kujjibwaako musolo nga bagala n’omusaala ogwabongezebwa ogw’ebitundu 10 ku kikumi gubaweebwa ng’ensako

SSabawaabi wa gavumenti Mike Chibita agaanye okubaako neky’anyega ku nsonga eno bwetumutuukiridde