Amawulire

Abavuzi ba Taxi beemulugunyiza kukya paaka enkadde okulwawo okugulwa

Abavuzi ba Taxi beemulugunyiza kukya paaka enkadde okulwawo okugulwa

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abavuzi ba taxi abaali bakakalabiza emirimu gyabwe mu paaka ya taxi enkadde, beemulugunyiza kukya abadukanya ekibuga kampla aba KCCA okulwawo okubadiza paaka.

Bano nga bakulembedwamu William Katumba, bategezeza bannamawulire mu kampala nti olwa abobuyinza okulwawo okugula paaka eno kiviriddeko nabamu ku banabwe okuziteeka emabbali wa paaka eno ate ekitakirizibwa.

Ono asabye KCCA kyonna kyekola ekikole mangu basobole okudamu okukakalabya emirimu gyabwe kuba waliwo ne banabwe abatalina we bapakinga motoka zabwe okusobola okusigala nga bakola.

Gyebuvudeko minisita wa Kampala, Minsa Kabanda yategeeza nga bwebatayinza kugula paaka eno kati nga bakyalina bye balina okumaliriza okutereeza mu paaka eno, gamba nga okuzimba Kabuyonjo mu paaka ezomulembe, okutekamu kamera ne birala.