Amawulire

Abavuganya gavumenti tebamatidde

Abavuganya gavumenti tebamatidde

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ministry eyebye ttaka nenkulakulana yebibuga etegezezza ngebyapa 112, ebyafulumira ku ttaka lyentobazi bwebasazizaamu.
Kino kibikuddwa minister omubeezi owebye ttaka Persis Namuganza, oluvanyuma lwomukulembeze we gwanga okuddamu okulagira nti abali mu ntobazi bazamuke.
Presidenti Muaseveani yasubizza nti abantu abo ssinga banavaayo mu mirembe, baakubayambako okubawa obulamu obugya.
Wabula minister agambye nti tekisoboka, kwewala kukozesa lyanyi, kubanga abantu bano abasinga ba mputu.
Ate mungeri yeemu abavuganya gavumenti balaze okutya kungeri okwongera kwomukulembeze we gwanga, gyekugenze kuserebamu, buli myaka egiyitawo.
Eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, era omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kiiza agambye nti mu byayogeddwa omukulembeze we gwanga yaweddemu amaanyi.
Kiiza agambye nti presidenti Museveni yalemereddwa okulaga ekifananyi ekituufu ekiir mu gwanga.
Agambye nti yalemereddwa okwogera ku katyabaga kobumbulukuka kwe ttaka okwomudiringanwa e Bududa nabasomesa, bann-Uganda bebakubye amasasi mu gwanga lya South Sudan, ate nadda mu byakwogera ku balamazi banan-Kenya.
Kati enkolagana ya Uganda ne Rwanda etali nnungi byebimu kwebyo ebirala ebyogerwako nti yabirese ttale.