Amawulire

Abavuganya Gavt bavudde kunsonga zábakadde

Abavuganya Gavt bavudde kunsonga zábakadde

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abali ku ludda oluvuganya gavt mu Palamenti baagala gavumenti eyongere ku muwendo gw’abakadde abaganyulwa mu nsimbi ezibaweebwa buli mwezi ate ekendeeza ne ku myaka kwebalina okuzifunira.

Ensimbi zino zimu ku nteekateeka ya Social Protection Programme (ESP) eyassibwa mu nkola Gavumenti okuyita mu Minisitule yé kikula ky’abantu abakozi nembeera za bantu nga mu kiseera kino abakadde 6,596 bebakaganyulwa.

Mu kwogerako eri abamawulire ku palamenti wakati nga Uganda yetegekera okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lwa bakadde olunaku lwenkya, ababaka bano nga bakulembedwamu minisita owekisikirize avunanyizibwa ku nsonga ze kikula kya bantu, abakozi nembeera za bantu,  Rose Fortunate bagambye nti bagala buli mukadde awezeza emyaka 65 abeere nga afuna kunsimbi zino ate abakadde be Karamoja abawezeza emyaka 60 nabo bakkirizibwe okuzifuna.

Mungeri yemu bavumiridde gavt okulemererwa okuwa abakadde amayumba agomulembe mwe basobola okuwangalira

Omubaka wa Mawokota North Hillary Kiyagga ayongera okutangaza.