Amawulire

Abavuganya bekengedde omukago

Abavuganya bekengedde omukago

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe

File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe

Ng’abavuganya bakyagenda mu maaso n’okukuta okulonda anakwata bendera yaabwe mu kulonda kw’omwaka ogujja, ababaka abamu batandise okwekengera.

Bano batudde olunaku lwajjo lwonna kyokka nebafundikira ng’era tebalonze yadde nga kati kyakakasiddwa nti olwokaano lwasigaddemu abantu babiri bokka.

Okusinziira ku babaka okuli Beatrice Anywar ,Oddo Tayebwa, ne Roland Mugume, abakulu mu TDA basaanye okusalawo kubanga tewali budde kyokka ng’era abamu bawagira eky’okusimbawo ababiri olwo wabeewo okwegatta ssinga pulezidenti Museveni taweza bitundu 50 ku kikumi

Bbo nno aba CP bagamba nti bandiva mu mukago guno kubanga okusika omuguwa kususse.

Omu ku batuula mu mukago era nga y’akulira CP John Ken Lukyamuzi agambye nti kikyaamu okukulembeza Mbabazi mu buli kimu ng’ate abantu nga Besigye babaddewo okulwanirira ekintu.