Amawulire

Abavuganya bawera si bakudda mu ssetteserezo okutuusa nga Gavt ebanukudde

Abavuganya bawera si bakudda mu ssetteserezo okutuusa nga Gavt ebanukudde

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya basazeewo okwesamba entuula za parliament zonna, okutuusa nga government ewadde alipoota erimu okwetonda ku bikolwa byebayise ebyeffujjo ebityooboola eddembe ly’abantu abali ku ludda oluvuganya, nti  byezze ebakolako ng’eyita mu bitongole by’ebyokwerinda.

Akulira oludda oluvuganya government mu palamenti Mathias Mpuuga mu lukungana lwa bannamawulire lwatuuziza ku palamenti agambye nti ensonga y’okutyoboola eddembe ly’abantu abavuganya gavumenti terina kusaagirwamu.

Kinnajjukirwa nti ng’ennaku zomwezi 5th October,2023 ab’ebyokwerinda baakwata omukulembeze w’ekibiina ki NUP nga yakatuuka ku kisaawe e Ntebbe, okuva e SouthAfrica,  ne bamukunguzza okutuuka mu makaage e Magere nga kwogase okukwta abamu ku bawagizibe abaali bamulindiridde.

Songa ku bbalaza abebyokwerinda baazingako ekitebe Kya NUP e Kamwokya ne balemesa okusaba okwali kutegekeddwa ekibiina kino, okusabira abantu babwe abazze bawambibwa,abaafa naabo abali mu makomera, ne kwolwo abawagizi abalala baakwatibwa.