Amawulire

Abavuganya basabye Kenya okubuusa amaaso ebya yogeddwa Gen Muhoozi

Abavuganya basabye Kenya okubuusa amaaso ebya yogeddwa Gen Muhoozi

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ab’oludda oluvuganya mu palamenti basabye gavumenti ya Kenya ne bannansi okubuusa amaaso ebigambo ebigambibwa nti byawandiikibwa omuduumizi w’amaggye ga Uganda agóku ttaka Gen Muhoozi Kayinerugaba nga ayita ku mukutu gwe ogwa twitter, ebyalabise nga bikuma omuliro mu bantu era nga bivuma eggwanga lyabwe eririna obwetwaze.

Olunaku lw’eggulo Gen Muhoozi yavuddeyo ku mukutu gwe ogwa Twitter n’agamba nti amaggyege aga UPDF kigatwalira wiiki bbiri zokka okuwamba ekibuga ekikulu ekya Kenya, Nairobi

Kino kyaviriddeko abantu ab’enjawulo okuva mu Kenya ne Uganda okukitwala nti Gen Muhoozi teyatadde kitiibwa mu bwetwaze bw’amawanga gombi.

Ng’ayogera eri bannamawulire mu palamenti, minisita w’ekisiikirize ow’ensonga z’ebweru Muwadda Nkunyinyi agambye nti kyewunyisa okulaba nti omuntu nga Gen Muhoozi nga ye genero w’amagye era mutabani wa pulezidenti ow’ekitiibwa ennyo mu kitundu ky’obuvanjuba bwa Afrika ne Afrika okuwandiika ku mukutu gwe ebigambo ebiwakankula entalo.

Ono agamba nti ebigambo bye biyinza okuleetawo enjawukana wakati w’amawanga gombi ekivaamu olutalo oba okulemesa Bannayuganda okutambuza ebyamaguzi n’obuweereza.