Amawulire

Abavuganya bakuzza ebbago ly’etteeka erya presidential succession bill

Abavuganya bakuzza ebbago ly’etteeka erya presidential succession bill

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathius Mpuuga, ategezeza palamenti nti abavuganya balina entekateeka eyokuzza ebbago lye tteeka kukulondebwa kwa pulezidenti singa aliko afa oba okugwa mu kalulu erimanyibwa nga presidential succession bill.

Ebbago lino lyali lyakuleetebwa mu palamenti eyomulundi owgo 9 omubaka wa Buikwe south Dr. Michael Lulume Bayiga.

Mpuuga akinoganyiza nti waliwo omuwaatwa mu mateeka agaliwo kati ku bikwata ku kukulondebwa kwa pulezidenti omugya singa abaddeko mukama amunyululula okuva mu bulamu bwensi eno oba okuwangulwa mu kalulu.

Omukulembeze weggwanga Museveni mu kulonda sipiika okwali e Kololo yali yawabula nti ababaka bakole bukozi nnongosereza mu article 82 erambika kukulondebwa kwa sipiika.

Wabula Mpuuga agamba nti obwetaavu okusinga buli ku bbago erikwata kukulondebwa kwa pulezidenti.