Amawulire

Abavuganya bakukola embalirira yéggwanga eyabwe

Abavuganya bakukola embalirira yéggwanga eyabwe

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Akulira oludda oluwabua Gavumenti mu Parliament Mathias Mpuuga ayagala oludda oluvuganya lukyuse mu ngeri gyelukola mu ebintu byalyo naddala bwekituuka ku kuwa engeri endala gyelulowooza nti entambuza y’emilimu gyeggwanga bwegyandibadde gikwatibwa.

Mpuuga agamba nti ng’aboludda oluvuganya,  tekyandibadde kyabuvunanyizibwa okudda mu kulongoosa abali mu bukulembeze byebadibaze wabula basaanidde okulowooza ku ngeri ezo zennyini zebayiza okuteekesa mu nkola singa baba bawereddwa obukulembeze nga binaleetawo enjawulo.

Okwogera bino abadde agulawo olutuula lw’aba minister mu government y’ekisiikirize olutudde olugenda okumala ennaku 3 mu bitundu by’ Entebbe okubaga ku mbalirira y’eggwanga gyebalowoorezaamu ey’omwaka ogwa 2023/24.