Amawulire

Abavuganya baganye okukkiriza alipoota ya Gavt ku kiwamba bantu

Abavuganya baganye okukkiriza alipoota ya Gavt ku kiwamba bantu

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Prossy Kisakye,

Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye ekiwandiiko kya gavumenti ekyanjuddwa Ssaabaminisita Robina Nabbanja ku bikolwa eby’okuwambibwa n’okubula kw’abantu ebitaggwaawo mu ggwanga.

Mu nsisinkano gyeyali wakati wa baminisita n’oludda oluvuganya wiiki eno, Nabbanja yategeeza nga gavumenti bwerina abantu bataano bokka kwabo 25 ab’oludda oluvuganya bebalumiriza nti babuzibwawo.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu palamenti, minisita w’ebyokwerinda ow’ekisiikirize Jonathan Odur agamba nti ekiwandiiko kya ssabaminisita kyamaze gakolebwa nasaba gavt okulowooza ku famile zábantu abali munnaku olwokubulawo kwa bantu babwe.

Ono era alumiriza ssaabaminisita ne gavumenti obutaba na bwesimbu olw’okwegaana abantu ababuzibwawo mu lujjudde.

Mungeri yemu Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti, era nga ye minisita ow’ekisiikirize avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru, Muwadda Nkunyingi asoomoozezza kkooti mu Uganda okutambulira mu mboozi y’obwenkanya nga bwe bakola emirimu gyabwe.

Muwadda agambye nti Bannayuganda bangi bavundira mu makomera okwetoloola eggwanga olw’okuba ebitongole by’amateeka tebikola mirimu gyabwe nga bwe kirambikiddwa mu ssemateeka.

Yalaze obutali bumativu olw’obwenkanya okulwawo okuweebwa ababaka ba palamenti abali ku alimanda n’abawagizi b’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Unity Platform

Wabula bwabadde aggulawo omwaka gw’amateeka omuggya, ku kitebe ky’ekitongole ekiramuzi mu Kampala, Ssaabamulamuzi, Alifonse Owiny Dollo, akakasizza nti omusango gw’ababaka ba palamenti ababiri abali ku limanda gugenda kukolwako nga emyezi 4 egisooka mu mwaka guno teginayita.