Amawulire
Abavuga Digi enene batandise okwewandiisa.
Bya Samuel Ssebuliba.
Abavuzi ba Pikipiki enene ebamanyiddwa nga ba biker wano mu Kampala abeggattira mu kibiina kyabwe ekya Central riders association leero batandise kaweefube ow’okuwandiisa pikipiki zaabwe nga police ekola ku biduka bweyalagira.
Kinajukirwa nti bino okubaawo kyadirira okuttibwa kweyali aduumira police ye Mohamed Kirumira , nekizuuka nga abaamutta baali batambulira ku Pikipki zino.
Twogedeko ne Maurice Senyange nga ye mwogezi w’ekibiina kyabwe naagamba nti tebabawadde budde bumala, kyoka nga abamu kubbo bakola.
Wabula ye aduumira Police wano mu Kampala n’emiriraano Norman Musiinga nagambye nti bano tebalina kyakukola okujjako okugondera amateeka.