Amawulire
Abavubuka tebaganyuddwa munteekateeka za gavt
Bya Prossy Kisakye,
Abakulembeze b’abavubuka mu Uganda bagamba nti enteekateeka ezizze ziteekebwawo govt okusitula embeera zabwe tebaziganyuddwamu.
Olunaku lw’abavubuka mu Uganda lukuzibwa buli nga 12 August, wabula ku mulundi guno lwayongezebwayo okutuuka nga 18 August 2023.
Olunaku luno lujjiddde mu kiseera ng’ensimbi obuwumbi 16 gavumenti zeyasaawo okusitula embeera z’abavubuka eza Youth Livelihood program zikyabalemye okuzza, songa bangi embeera zabwe tezikyuse.
Ensimbi obuwumbi 40 bwokka bwebwakanunulwa obuwumbi 130 bukyalemedde mu nteekateeka eno.
Ebibiina byabavubuka bingi ebyaaweebwa ensimbi zino bikyalemeddwa okuzizaayo,olwa projects mwebaateeka ensimbi zino okuzingama.
Lubega Walid omukulembeze w’abavubuka ku FDC agambye nti abavubuka abaganyuddwa mu projects zino babalibwa ku ngalo, era nti government abavubuka ezze ebatimba bbula okubakozesa okuzannya ebyobufuzi byaayo