Amawulire

Abavubuka b’obubizzi balina okwewozaako

Abavubuka b’obubizzi balina okwewozaako

Ali Mivule

August 2nd, 2016

No comments

yelow pigsKkooti ya City hall eragidde abavubuka ababiri abasuula obubizzi ku palamenti bewozeeko ku musango guno.

Norman Tumuhimbise ne  Robert Mayanja kkooti egamba balina omusango gw’okwewozaako.

 

Omulamuzi Moses Nabende ategezezza nti oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi bw’abaali bakuuma palamenti mu kiseera ekyo, ababiri bano balina okwewozaako.

 

Omuomuzi Nabende agambye bano balina okubuulira kkooti engeri obubizzi buno obwali busiigiddwa kyenvu gyebwayingira palamenti nga 17-June 2014.

 

Abavubuka bano kati basazewo okusirika awatali kwewozaako omulamuzi awe ensalaye ku musango guno nga asinziira ku bujulizi obunaaba bumuweereddwa oludda oluwaabi.

 

Bano wabula basabye omulamuzi atuukeko qwebagambibwa okusuula obubizzi buno yetegereze ekifo kyonna nga tanawa nsala ya musango guno.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *