Amawulire

Abavubuka batiisatiisiza okugana ensimbi za Parish Model

Abavubuka batiisatiisiza okugana ensimbi za Parish Model

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Abavubuka wansi wekibiina ekibagatta ki National Youth Council batiisatiisiza okugaana omutemwa gwensimbi ze balina okufuna mu pulogulamu ya gavt eya Parish Development singa gavt tebawa ebitundu 30% nga bbo ku mutendera ogwawansi.

Ssentebe wékibiina kino Jacob Eyeru, anyonyodde nti gavt yali yabasuubiza omutemwa guno okugubawa bokka nga tegugatibwa ku balala wabula kino tekikolebwa songa pulogulamu enatera okutandika okukola.

Eyeru atiisatiisiza okukunga abavubuka okugaana ensimbi zino singa gavt tewuliriza mulanga gwabwe.