Amawulire

Abavubuka batabukidde ababaka ba NRM- ssimwe mutusalirawo

Ali Mivule

February 28th, 2014

No comments

NRM

Abavubuka b’ekibiina kya  NRM bayise olukungaana okusobola okwogera ku kulumangana okuli mu kibiina.

Okuinziira ku ssabawandiisi w’ekibinja kino  Sulaiman Mayanja agamba agamba nti yadde nga bawagira ekyokusemba omukulembeze w’eggwanga okukwata bendera y’ekibiina mu kulonda okujja, naye bbo balekeddwa ttayo mu kusalawo kwonna.

Agamba ebitongole byonna mu kibiina birina okutekebwamu ekitiibwa saako n’okuwuliriza ebirowoozo byonna okulaba nga enkola ya Demokulasiya ebukula mu ggwanga.