Amawulire

Abavubuka bagala Tanga Odoi Agobwe

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2018

No comments

Bya Derric Wandera

File photo: Owe byokulonda mu NRM

Ekiwayi kyabavubuka mu kibiina kya NRM kiwandikidde omukulembeze we gwanga, ssentebbe wekibiina Yoweri Museveni nga bagala agaobe, ssentebbe webyokulonda Dr Tanga Odoi mbagirawo.

Mu bbaluwa eno gyebawandiise nga March 6 2018, NRM ono bagala agobwe olwebigambo bye byebagamba nti bimenya amateeka gekibiina.

Dr Odoi abadde ananenya sswanadiisi wa NRM Justine K. Lumumba okugob abakozi 364 ku gwandisizo lyekibiina, kyagamba nti nobukulembeze bwe bubi.

Omumyuka wa ssentebbe wekiwayi kyabavubuka mu NRM, Joseph Sewava Mukasa agambye nti Tanga Odoi obwa memba bwe bubusibwa kuba yali wa kibiina kya UPC, oba ssi ekyo yetaaga kuzaayo ku banguliro lyebyobufuzi e Kyankwanzi asomesebwe.

Wabula banaffe aba Daily Monitor bwebatukiridde Dr Tanga Odoi, azikubyemu okwaka, nabuuza bani ababade bakulembeddemu okugobwa.