Amawulire

Abavubi e Mityana bemulugunya ku kyokuwera amaato amatono

Abavubi e Mityana bemulugunya ku kyokuwera amaato amatono

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Oluvanyuma lwabalwanyisa envuba embi okuwa nsalessale, wa mwezi gumu abavubi abakozesa amaato n’obutiimba ebitakkilizibwa okukyusa, abokunyanja Wamala basobeddwa bagamba nti tebamanyi kiddako.

Abavubi ku mwaalo gwe Katiko mu district ye Mityana bagamba nti enyanja eno ejjudeko ebisaamba atenga n’amaato agabalagilwa
gagula buwanana.

Bagamba nti olwebisamba amaaso agamu tegasobola kusabalira ku myalo egimu.

Nsereko Ponsiano ye Ssentebe wa avubi ku mwalo gwe Katiko.

Enyanja Wamala egabanibwa District okuli Gomba, Mubende, Kassanda ne Mityana.

Atwala abavubi bano Ali Ssekiwunga agambye nti ekizibu eky’ebisamba kyikosezza abavubi bonna.