Amawulire

Abatuuze e Masaka balajanidde Gavt ebataase ku mugagga abagobaganya kuttaka

Abatuuze e Masaka balajanidde Gavt ebataase ku mugagga abagobaganya kuttaka

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Abatuuze abawangaalira ku Kyalo Samaliya mu gombolola ya Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka beekubidde enduulu eri bekikwatako babayambe ku Mubaka wa Uganda mu Germany Ambassador Danny Ssozi Mayanja abagobaganya ku ttaka lyabwe.

Ettaka eryogerwako liwezaako yiika 15 nga lisangibwa mu kibuga Masaka nga amayumba agasukka mu kkumi goolekedde okusendebwa.

Ku biwandiiko byetulabyeko, kooti yali yayimiriza omuntu yenna okubaako kyakolera ku ttaka wabula ate musangiddwamu ebinnya ebisimiddwa okwetoloola ettaka lino

Abamu ku bagobaganyizibwa ku ttaka kuliko Hanifa Namukwaya, Ronald Jjingo, Ashraf Ssemanda n’abalala.

Ssentebe w’omuluka gwa Samaliya ward Michael Mpiima agamba nti agezezaako okwogera n’abakulira eby’okwerinda bonna mu kitundu wabula nga si balambulukufu.

Tugezezaako okunonya Ambassador Danny Ssozi Mayanja okubaako kyatubuulira ku nsonga zino wabula tulemeddwa