Amawulire

Abatuuze b’eKirinya emitima gibeewanise lwa kiwandiiko ekibagoba ku Ttaka

Abatuuze b’eKirinya emitima gibeewanise lwa kiwandiiko ekibagoba ku Ttaka

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abatuuze b’e Bukasa Kirinya mu Munisipaali y’e Kira abasoba mu 300 bali mu kutya oluvannyuma lw’okufuna ekiwandiiko ekibagoba ku ttaka lyabwe  mu ennaku 45 gavumenti lyeyali eyagala okuzimbako omwalo omupya.

Bano bagala kkooti eyimiriza pulojekiti ya Gavumenti eno okutuusa nga baliyiriddwa mu bujjuvu.

Abatuuze bagamba nti ettaka eryogerwako lyaweebwa abantu abaali babeera mu mu bitundu byé Nakawa -Naguru kwebabadde emyaka egisoba mu kkumi okutuusa mu 2017 gavumenti ng’eyita mu minisitule y’emirimu n’ebyentambula bweyateesa okuzimba omwalo omupya.

Wabula bagamba nti oluvannyuma lw’okubalirira omuwendo gwe ttaka baasasulwa wakati wa Shs 90, 000 nóbukadde 2 ezitamala kubangula.