Amawulire

Abatuuze beekengedde Ebola we Congo.

Abatuuze beekengedde Ebola we Congo.

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2018

No comments

Bya  ssebuliba Samuel .

Abatuuze mu bitundu omusinga okutukira ababundabunda nadala bano abava mu congo tutegeezeddwa nga bwebaasula ku teebukya nga batya nti akadde konna abantu bano bagenda kujja ne Ebola.

Omubaka w’ekitundu kye Kyaka South  nga ono ye Jackson Karugaba Kafuuzi  yabuulidde Parliament nti  ekitundukye mwemuli enkambi eya Kyaka 11  omutukira ababundabunda abaakava e congo, kale nga waliwo okutya nti Ebola ali mu Congo wano waagenda okutuukira abune Uganda yonna.

Wabula mu kwanukula Minisita  akola ku by’obulamu  omukyaka Jane Ruth Achenge yagambye nti ensonga eno bagimanyi era nga y’ensonga lwaaki baateka abakugu ku nsalo okwekebejja buli ayingira mu gwanga okuva mu congo.