Amawulire

Abatuuze be Mubende balabuddwa obutataama lwa taka.

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

 

Ssentebe w’akakiiko akanonyereza ku by’etaka Justice Catherine Bamugemereire alabudde abantu be Mubende okusigala nga bakakamu beewale okuyita mukuyiwa omusaayi nga balwanagana olw’etaka kubanga ensonga zaabwe zikolebwako.

Ono okwogera bino kidiridde aduumira police yeeno Martin Okoyo okutegeeza akakiiko kano nti enkayana wakati w’abatuuze n’omuyindi Abid Alamu zivudemu okuyiwa omusaayi, era nga kaakano police esiiba erawuna ekitundu kino.

Ono agambye nti mukulwanagana okwaliwo nga June 11th 2018 e Mubende omutuuze amale akubwe n’esasi abaakikola bonna bakwatibwa, era nga akadde konna bakutwalibwa mumbuga zamateeka.