Amawulire
Abatuuze basobedwa olwamunaabwe eyabuzibwawo
Bya Magembe Ssabiiti,
Abatuuze b’e Nsengwe mu ggombolora ey’e Kitenga mu district y’e Mubende balaajanidde poliisi ye Mubende ebayambeko okuzuula omuntu waabwe eyabula kati emyezi ebiri.
Kigambibwa nti nga 12th omwezi oguwedde Kisembo Godfrey nga mukulu wa ssomero erya Kisiita Primary School e Kasambya lweyava awaka kyokka yasemba okulabikako ku kitebe kya district e Mubende gyeyali agenze okufuna ebintu ebyali bigenda okweyambisibwa mu kuddaamu okuggulawo essomero.
Okusinziira ku mukyalawe Nakubulwa Justine, bamaze kati omwezi mulamba nga banonya omuntu waabwe abuze nga ne police yomukitundu tebayambye.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala region Rachael Kawala agambye nti omusango guno gunoonyerezebwako okuzuula amayitire g’omusomesa ono.