Amawulire

Abatuuze balajana lwa Ggonya ezirya banaabwe

Abatuuze balajana lwa Ggonya ezirya banaabwe

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abatuuze ku mwalo e Bwagu mugombolola ye Bukaboli balajana oluvanyuma lwa Ggonya okulya batuuze banabwe abawera 15 mu bbanga lya mwezi gumu.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Ssentebe wa wekitundu kino, Ayoub Ndikurwange, ategezezza nti abakyala bebasinze okukosebwa mu mbeera eno nga zibasoberera nga bagenze okusena amazzi ku Nyanja Nalubaale.

Bano okuvaayo bwebati nga waliwo omuwala owemyaka 18 eyakaliibwa Ggonya

Ndikurwange alajanidde ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ekya Uganda wildlife authority okubayamba kunsonga eno kuba abakyala bangi ne byokukima amazzi babivudeko.