Amawulire

Abatunulizi bébyókulonda kibawedeko ku byabadde mu Omoro

Abatunulizi bébyókulonda kibawedeko ku byabadde mu Omoro

Ivan Ssenabulya

May 27th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abalondoola ensasanya ya ssente mu byobufuzi wansi wekibiina ki Alliance for Finance Monitoring (ACFIM) bakubye ebituli mukudamu okulonda omubaka wa palamenti mu disitulikiti ye Omoro

Abantu 6 bebavuganyizza mu kulonda kuno okwawanguddwa owa NRM Andrew Ojok eyali mutabani womugenzi Jacob Oulanyah.

Bwabadde ayogerera mu kukubaganya ebirowoozo ku mitimbagano ssenkulu wekitongole kino Henry Muguzi, agambye nti okulonda kwe omoro county kwayingidde mu byafaayo, kubanga wabadeyo okugulirira abalonzi kyeere awatali kukwekamu yadde.

Ono agambye nti abantu obwedda basasulwa emitwalo ebiri buli omu okusobola okugenda mu bifo ewakubiddwa kampeyini naddala ku lunaku omukulembeze weggwanga weyabereddeyo.

Muguzi avumiridde nebikolwa byabakuuma ddembe okwetaba mu kulonda kuno, ate era nga balabidwako nga bakwese nnamba puleeti zémotoka zabwe ne bagulirira abalonzi, okubba obululu n’okukwata nga kwogase okuggalira abalonzi.

Muguzi asabye gavt okukyusa ekifanyi kya kalulu ke Uganda.