Amawulire

Abatunulizi bébyókulonda bawagidde Museveni ku by’okulonda kwa Uganda

Abatunulizi bébyókulonda bawagidde Museveni ku by’okulonda kwa Uganda

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatunuulizi b’ebyokulonda basanyukidde ekiteeso kya Pulezidenti Yoweri Museveni eky’okutwala enkola y’okukozesa okulonda kw’ebyuma bikalimagezi mu kulonda okujja okwewala emize gyókubba akalulu.

Ekiteeso kya Museveni kiddiridde obuvuyo obwalabidde mu kalulu kókulonda omubaka wa palamenti owa Oyam North akaakaggwa nga kawanguddwa Dr. Eunice Apio owékibiina kya UPC.

Museveni yavumiridde effujjo elyakolebwa mu kulonda kuno era nalagira wabeewo ekikolwa ku abo abagambibwa nti baateeka abalondesa ku mmundu gwe mmundu ne batikinga obululu ku linnya lya munna NRM eyali yesimbyewo.

Kino yagambye nti kiyinza okwewalibwa nga twettanira okulonda okwesigamiziddwa ku byuma bikalimagezi n’okukozesa ebinkumu.

Emabegako Museveni era yavumirira ebikolwa eby’obugwenyufu ebifaananako bwe bityo ebyetobeka mu kulonda kw’e Bukedea okwategekebwa omwezi oguwedde n’alagira wabeewo okunoonyereza okw’enjawulo okuva olwo abaserikale ba poliisi abawerako ne kansala baakwatibwa ekitongole kya gavumenti ekirwanyisa obuli bw’enguzi.

Kati akulira ekibiina kyóbwannakyewa ekilondoola ebyókulonda ki Alliance for Campaign Finance Monitoring, Henry Muguzi, ategeezezza K/Dembe FM nti Uganda bwe yeettanira tekinologiya ono, kyandiyongera obwesige mu nkola yaayo ey’ebyokulonda n’okukendeeza ku buvuyo mu kulonda, gamba ng’okubba obululu oba okulonda emirundi ebiri.