Amawulire

Abatunulizi bébye’nfuna bawabudde Gavt ne NAB

Abatunulizi bébye’nfuna bawabudde Gavt ne NAB

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2023

No comments

Bya Sebalu Mike,

Abakugu mu by’enfuna bawadde gavumenti n’ekibiina ekigatta emikutu gyámawulire ekya National Association of Broadcasters (NAB) amagezi okunoonya okutuula bakanye buli muntu asobole okuwangaala.

Kino kiddiridde ekiragiro kya pulezidenti ekiragira ebirango bya gavumenti byonna okuyitira mu kitongole kya gavumenti ekye byempuliziganya  ekya Uganda Broadcasting Corporation (UBC) ne kampuni ya Vision Group.

Ekiragiro kino kyayongedde okutiisatiisa okussa envumbo ez’amaanyi ku mukungu wa gavumenti yenna atagoberere kiragiro kino.

Dr. Fred Muhumuza, omukugu mu by’enfuna ategeezezza Dembe FM nti waliwo obwetaavu gavumenti okutegeeza obulungi ekiragiro kino kye kigenderera okutuukako.Kino agamba nti kiyinza okuyambako omulamawo okusika omuguwa okuliwo mu budde buno.

Mu kuwakanya ekiragiro kya pulezidenti kino ekibiina omwegatira abasunsuzi bamawulire mu ggwanga ki Uganda Editors’ Guild kyalangiridde obutadamu kusaka mawulire agakwata ku gavumenti okuteekebwa ku mikutu egyóbwannanyini.

Waliwo ne nsisinkano wakati wa gavumenti ne bannanyini mikutu gyamawulire mu maka go’mukulembeze weggwanga nga July 20th July babeewo byebakanya kunsonga eno.