Amawulire
Abatundira kunguudo balajanidde Museveni
Bya Prossy Kisakye, Abasuubuzi abakalabiza emirimu gyabwe ku mwala gwe Nakivubo okuliraana ewa Kiseka mu Kampala balajanidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okubataasa obutagobebwa mu kifo kino
Olunaku lw’eggulo abasubuuzi bano baliko ekiwandiko kye bagudeko nga kyawandikibwa omuggaga w’omu kampala John bosco Muwonge eri ekitongole kya KCCA ng’ayagala abasuubuzi bano balekere awo okukolerawo.
Bano nga bakulembedwamu Isaac Mulumba bagamba nti si bakuva mu kifo kino kuba kyabaweebwa omukulembeze w’eggwanga basobole okunonyezaawo akawogo.