Amawulire
Abatunda eddagala ryébisolo effu bagombedwamu obwala
Bya Prossy Kisakye,
Poliisi mu disitulikiti yé Sheema eriko abantu 4 betadeko obunyogoga ku bigambibwa nti babadde begumbulidde omuze ogwokutunda eddagala lye bisolo effu.
Abakwate kuliko Tumwebaze Eldad, Wilson Kafeero, Kakuru Denis ne Olive Kafeero.
Bano okukwatibwa kyadiridde ekitongole ekivunanyizibwa ku bye ddagala mu ggwanga ekya national drug authority okufuna okwemulugunya okuva mu balunzi ku ddagala erye biccupuli erisuze ku katale.
Okusinzira kwa kulira enzijanjaba ye bisolo mu kitongole kino, Dr Jeane Muhindo, anokodeyo eddagala lya TicK Burn lyagamba nti lirimu ebirungo ebyo bulabe eri ebisolo.
Ono alabudde abalunzi okwegendereza wa webagula eddagala lye bakozesa ku nsolo zaabwe okwewala okufiirizibwa