Amawulire
Abattemu basobeza ku mukyala ne bamutta
Bya Phillip Wafula, Poliisi mu disitulikiti y’e Jinja ebakanye n’okunonyereza ku nfa y’omukyala, omulambo gwe basanze bagusudde mu lukuubo wakati wa main street ne Gabula road mu municipaali ye jinja enkya ya leero.
Kigambibwa nti omukyala ono atanategerekeka bimukwatako yasoose kusobezebwako noluvanyuma nattibwa.
Poliisi ye Jinja omulambo ogugyewo ne gutwala mu ggwanika nga gwonna gujudde emisale ku mitwe ne ku bulago
Omubaka wa gavumenti mu Jinja Eric Sakwa anenyeza poliisi obutafaayo kulawuna bitundu omuli obumenyi bwamateeka ekiviriko abagamenya okwegirisiza mu kitundu kino.
Anokodeyo enguudo okuli Gabula, Wilson, Kiira, Lubas ne Kirinya nga zonna ziri mu kibuga kye jinja ne mu twon council ye bugembe nga ezisinga okukolebwamu obumenyi bwamateeka.