Amawulire

Abatta Ssentebe nómujaasi wa UPDF bakwatibwa

Abatta Ssentebe nómujaasi wa UPDF bakwatibwa

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2023

No comments

Bya George Emuron,

Ab’ebyokwerinda bakutte omusajja ateeberezebwa okutta Ssentebe wégombolola yé Longaroe, mu disitulikiti yé Kotido, Moses Lomuria n’omuserikale wa UPDF Lt Issa Mayende amasasi.

Maj Isaac Oware omwogezi w’amagye ga UPDF mu divizoni eyookusatu ategeezeza nti omusajja ono ye Modo John Apakori omutuuze ku kyalo Losilang, North Division mu Munisipaali y’e Kotido.

Kigambibwa nti bano yabatta nga 2nd, July 2023 mu lukiiko lw’abantu b’omu kitundu ku Longaro e Trading Centre.

Maj Oware ayongerako nti okukwatibwa kw’omutemu kivuddeko okuzuulibwa kwémmundu ekika kya SMG n’amasasi 6.