Amawulire

Abatta nabo bajja kuttibwa

Ali Mivule

September 13th, 2014

No comments

Kawanga and M7

Pulezidenti Yoweri alabudde abatta bannayuganda abatalina misango

Ng’ayogerera mu missa y’okujjukira omubaka eyasooka okuva mu kitundu kya Westnile, Pulezidenti agambye nti omukulu Gaspero Oda yattibwa amaggye ga UNLA nga talina musango kyokka ng’abamutta nabo tebaafuna mirembe

Pulezidenti omugenzi amwogeddeko ng’omusajja eyali omwesimbu era atali mwangu kujjibwa ku mulamwa

Gaspero Oda nga yali munna DP kakongoliro eyali amaze mu buwangaguse ebbanga yakubwa byaasi ebyamutta ng’adda ewaabwe mu Arua.

Omukolo gw’okumusabira gwetabiddwaako n’eyali ssenkaggale wa Do Dr Paul Kawanga Ssemwogerere

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *