Amawulire

Abatikiddwa baweereddwa amagezi

Abatikiddwa baweereddwa amagezi

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2022

No comments

Bya Barbara Anyait,

Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza ebya waggulu Dr John Chrizostom Muyingo akubiriza abayizi abatikkirwa mu matendekero aga waggulu mu kuyiga okubeera abayiiya nga bwe beetondera emirimu nga bakozesa obukugu bwe bafuna mu kutendekebwa.

Okusinziira ku Muyingo, abayizi bangi bava mu matendekero nga tebalina mirimu ekyongera ku bbula ly’emirimu mu ggwanga lino.

Muyingo era okukubiriza abayizi n’abasomesa okwongera okunoonyereza ku bintu ebyenjawulo kuba eno nayo mpagi mu byenkulakulana.

Bino abyogeredde kumatikira ga bayizi e Kyambogo ag’omulundi ogwe 18.

Mungeri yeemu kyansala wa yunivasite eno prof. John Yakobo Okedi asabye abayizi okutwala ebyenjigiriza ng’ekikulu era ekiyinza okuyamba mu kulwanyisa obwavu.

Abayizi abasoba mu mutwalo gumu mwenkumi 2000 be batikkiddwa mu masomo egy’enjawulo nga bafunye satifikeeti, dipulooma, bachelor’s degree, master ne PHDs.