Amawulire

Abatembeeyi balumirizza KCCA okubaletera ba kanyama

Abatembeeyi balumirizza KCCA okubaletera ba kanyama

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Abatembeeyi mu paaka enkadde bambalidde ekitongole ekitwala ekibuga ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) olwa kyebabagamba nti babayisizza ngebyokuttale.

Eno ba kanyama baaleteddwa okuteekesa mu nkola amateeka, okujja abatembeeyi ku nguudo.

Kinajjukirwa nti ku ntandikwa yomwezi guno, omubaka wa gavumenti mu kibuga Hudu Hussein yawa abatembeeyi ssalessale wanga 10 January 2022, okuba nga bavudde ku nguudo bagende mu butale.

Olwaleero abatembeeyi batubuliidde nga bwebabadde batanamanya ku kiragiro ekyayita okubagoba ku nguudo.

Kati meeya wegombolola yamasekati Salim Uhuru nabakulu mu KCCA baakwanukula.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *