Amawulire
Abatebrezebwa okutta empologoma baakutwalibwa mu kooti
Bya Juliet Nalwooga
Abantu 3 abateberezebwa okuba nti bebali emabega wobutemu obwakolebwa ku mpologoma 6, mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park mu disitulikiti ye Kanungu baleteddwa ku kitebbe kyaba mbega e Kibuli, mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti abakwate kuliko Vincent Timuhirwe owemyaka 48, Robert Ariho owemyaka 40 ne David Miryangp owemyaka 68.
Bano agembye nti bagenda kusimbibwa mu kooti ya Buganda ewoza emisango egyekuusa ku buttoned bwomu ttale nebyempuliziganya.
Bano poliisi egamba nti basangibwa nemitwe gyempologoma 3, amagulu 15 nekidomola ekyalimu ebintu ebigambibwa okubeera amasavu gempologoma.