Amawulire

Abateberezebwa okutta kaweesi musanvu bayimbuddwa.

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah.

Omulamuzi wa kooti ye Nakawa Noah Sajjabi  akirizza abasajja musanvu okweyimirirwa -kwabo omwenda abaali basabye okweyimirirwa nga bano bebateberezebwa okwetaba mukutta eyali ayogerera police ya uganda AIGP Andrew Felix Kaweesi nebanne abalala babiri.

Bano omulamuzi abateeredde ku kakalu ka kooti ka bukadde 50 ezitabadde za buliwo, songa ababeyimiridde bawadeyo obukadde  500 ezitabadde za buliwo.

Bano nga bayita mu mumunamateeka waabwe Ladislous Rwakafuuzi baasaba okweyimirirwa nga bagamba nti bamaze abanga lya myezi 6 ku alimanda, kale nga kimenya mateeka okusigala nga bakyakumirwa mu komera.

Bbo banaabwe ababiri tebasobodde kuyimbulwa kubanga abazze okubeyimirira tebabade na bisanyizo.

Kinajukirwa nti abasajja bano baali 22, munaana kubbo nebasindikibwa mu kooti enkulu, abataano tebaanaweza myezi 5 ku alimanda, omwenda nebasaba okweyimirirwa, wabula kubano 7 bokka bebayimbuddwa leero- 2 bazeeyo