Amawulire

Abateberezebwa okutega bbomu basindikibwa mu kkooti enkulu

Abateberezebwa okutega bbomu basindikibwa mu kkooti enkulu

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi wa kkooti eyókuluguudo Buganda oweddaala erisooka, Asuman Muhumuza, asindise abantu 19 abavunaanibwa okutulisa bbomu mu disitulikiti y’e Kampala, Wakiso ne Mpigi mu kkooti enkulu batandike okuwerennemba ne misango gyabwe.

Kino kiddiridde Patricia Chingtho ow’oludda oluwaabi okutegeeza Kkooti nti okunoonyereza kwa poliisi mu nsonga zino kuwedde era nga beetegefu okutandika okuvunaana abantu bonna abavunaanibwa okuli n’abakazi bataano.

Oludda oluwaabi lulina obujulizi obulaga nti abantu abavunaanibwa baakola mungeri emenya amateeka, ne bateegeka, n’okutulisa boomu enkolelere mu disitulikiti y’e Mpigi, Wakiso, ne Kampala n’ekigendererwa eky’okuviirako abantu okufa oba okulumya nókusanyalaza ebyenfuna.

Kigambibwa nti omusango guno baaguzza wakati wa 2020 ne 2021 n’ebigendererwa by’okunafuya gavumenti n’okutiisatiisa abantu oba ekitundu ky’abantu olw’ebigendererwa by’ebyobufuzi, eby’eddiini, n’eby’enfuna n’embeera z’abantu nga tebafaayo ku bukuumi bw’abalala oba ebintu.